Amawulire

Musumba Alya Butaala

Ali Mivule

June 19th, 2013

No comments

 

 

 

 

Kooti yokuntiko muggwanga lya buyindi yejeerezza eyali minister omubeezi owensonga zebweru weggwanga Isaac Musumba.

Musumba nomubaka wa  Igara eyobuvanjuba Michael Mawanda Maranga baakwatibwa mu mweezi gwokuna omwaaka guno ku bigambibwa nti baali bakozesa olukujukuju okujja obukadde bwa doola 20 okuva ku bayindi abakulira kampuni ya Videocon.

Ababiri bano baakwatibwa nemunayuganda nomusuubuzi, Yakuba Mathai.

Musumba ategeezezza Dembe Fm nga bwaali omusanyufu enyo kunsalawo eno, era nasekerera banabyabufuzi  ababadde bamukuba olwaali.

Mu alipoota eyafuluma, kampuni yabayindi eno eya Videocon yajja mu ggwanga okuyiikula ebyobugagga mu 2009, wabula oluvanyuma abana bano baabulawo mungeri etaategerekeka nga tebasasudde ezimu kunsimbi ezali zibabanjibwa.

 

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *