Amawulire

Musome eby’okusirisa abalwadde

Musome eby’okusirisa abalwadde

Ivan Ssenabulya

December 18th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Akulira ekitongole kya Uganda Allied Health Examinations Board Patrick Kibirango Mpiima asabye abasoma obusawo okwongera okwettanira okusoma, obusawo naddala abakyali abekekwa mu gwanga.

Agambye nti mu basawo abebbula mulimu abasiriisa abalwadde nga bagenda okulongosebwa, abagaba eddagala nabakuba ebifanannyi, ngabakyasoma basaanye okutunula ennyo mu bisaaw ebyo.

Bino abyogeredde ku ttendekero ly’abasawo erya St. Elizabeth
Institute of Health Professional’s
e Mukono bwabadde attikira abasawo abasobye mu 300 abafunnye amabaluwa ku mutendera gwa certificate ne Diploma.