Amawulire

Musisi yeekazaala bulwa

Ali Mivule

August 12th, 2013

No comments

Nyakaana

Meeya w’amasekkati ga Kampala, Godfrey Nyakaana agamba nti obuzibu bwonna buvudde ku Jennifer Musisi.

Agamba nti Musisi yajja n’abantu abaali bakola mu kitongole ekiwooza nga tebalina kyebamanyi ku ngeri yakuddukanyaamu kibuga.
Amulumbye era ku kujjako aba divizoni obuyinz abwonna n’abwezza nga buli kimu akikolera waggulu w’amateeka.

Bino bili mu kakiiko akanonyereza ku kiwandiiko kya ba kansala abagaala Loodimeeya agyibweemu obwesige.

Ono y’omu ku bajulizi 11 abaleeteddwa Loodi meeya nga ba meeya ba divizoni abalala basuubirw aolunaku lwaleero