Amawulire

Museveni yewozezzaako

Ali Mivule

November 5th, 2015

No comments

Pulezidenti Museveni awolereza enkola y’okusimbawo omuntu omu ku bifo ebyenjawulo mu kibiina kya NRM.

Pulezidenti era ne mu kamyufu k’ekibiina akaakaggwa y’alagidde abamu ku besimbyewo okulekera banaabwe  mu ttabamiruka.

Abamu ku bannabyabufuzi kino bakilaba nga okutuulira enkola ya Demokulasiya.

Wabula ye pulezidenti Museveni agamba nti yadde nga okuvuganya kulungi, abamu bwebalekera banaabwe tewali kizibu kale nga era mukakafu nti NRM yakuwangula ebifo ebisinga mu kalulu ka 2016.