Amawulire

Museveni yaweredde abazungu

Museveni yaweredde abazungu

Ivan Ssenabulya

May 13th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Gavumenti ya NRM egamba nti ekiririza mu mwoyo gwabaddugavu kyokka.

Bino byogeddwa omukulembeze we’gwanga Yoweri Museveni bweyabadde yakalayira okukulembera Uganda, ekisnja 6 olunnaku lwe ggulo, ku mukolo ogwabadde ku kisaawe e Kololo.

Museveni agambye nti nga NRM baakugenda mu maaso okubunyisa engiri eyokunyweza obumu nokwegatta nga Africa.

Alayidde nti tebajja kuddamu kukiriza bazungu, kulumba nsi ya Africa yonna nga bwebakikola ku gwanga lya Libya.

Ku mukolo gwokulayira, olunnaku lweggulo abavuganya pulezidenti 2 boikka bebabaddewo, okuwabadde Eng. Willy Mayambala ne Johm Katumba.

Mungeri yeemu, ssabawandiisi wekibiina kya NRM, Justine Kasule Lumumba asabye banna-Uganda okwegatta ku gavumenti okulwanyisa obwavu.

Lumumba agambye nti omulimu gwokutondawo obugagga nenkulakulana, bannansi tebasaanye kugulekera gavumenti naye kyetagisa nnyo okwetaba mu lutalo awamu.

Agambye nti waliwo nobwetaavu okulwanyisa enguzi egwerewo ddala.

Ate akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Betty Ochan atadde pulezidenti Museveni ku nninga, nti mu kisanja kino asaanye okussa ekitiibwa mu Ssemateeka.

Ono agambye nti kyali kikyamu mu kisanja kye ekyokutaano, okutigatiga ssemateeka okujjawo ekkomo ku myaka.

Agambye nti nga bweyalayidde kikulu nnyo okussa ekitibwa mu kulayira kweyakoze.

Ebiralala, Ochan agambye nti ebikolwa ebyokutyoboola eddembe lyobuntu byeyongedde nnyo mu gvumenti yenga bisaanye bikome mu kisanja kino.