Amawulire

Museveni yakyaleebya banne ku 53%

Museveni yakyaleebya banne ku 53%

Ivan Ssenabulya

January 12th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Alipoota efulumiziddwa aba afro barometer etadde pulezidenti Museveni waggulu, ku banne abamuvuganya.

Bino webijidde ngebula olunnaku lumu okutuuka ku kulonda kwa bonna.

Bwabadde afulumya alipoota eyavudde mu kunonyereza kwabwe ku kulonda kwa 2020/21, Francis Kibirige omunonyereza omukulu agambye nti ku bantu bebabuuza 84%, ebitundu 53% bagamba nti bajja kulonda Museveni owa NRM.

Owa NUP Robert Kyagulanyi okunonyereza kwamutadde mu kifo kyakubiri nebitundu 18 % atenga abasigadde bagabanye 5% songa abantu 22% tebalaga webayimiridde.

Abantu abakulu 2,400 bebabuzibwa mu kunonyereza kuno okwakolebwa wakati wa 22 Decemba 2020 ne 7 January 2021, nga balondobayo ebifo 300 okuva mu distulikiti 110.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *