Amawulire

Museveni simwetefu kugguminkiriza bujeemu

Museveni simwetefu kugguminkiriza bujeemu

Ivan Ssenabulya

June 3rd, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Omuk weggwanga Museveni yenyamidde olwobujeemu obweyongera mu bannauganda nomuzze gwobuli bwenguzi nagamba nti gavt ye tegenda kubiguminkiriza.

Bino bibadde mu bubaka bwa Museveni eri abalamazi abakunganidde ku kiggwa e Namugongo obumusomeddwa akulira abakozi Dr John Mitala

Asabye abakulembeze mu ddiini okubulirira abakkiriza okwewala ebikolwa ebyo kuba bisiiga eggwanga ekifananyi ekibi.

Mungeri yemu Abakkiriza bakalatiddwa okusigala nga bakolerera emirembe mu ggwanga lino.

Omulanga guno gukubiddwa sentebe wolukiiko lwa basumba mu ekelezia katolika era nga ye musumba wessaza lya Kiyinda Mityana Joseph Anthony Zziwa bwabadde ayogerako eri abakkiriza ku kiggwa kya bajjulizi e Namugongo.

Ono asabye abakkiriza obutakoma Namugongo kusaba katonda wabula bamwegayirire wonna webali akole ebye kisa eri eggwanga

Bishop Zziwa era alangiridde nga papa francis bweyalonze Fr Rapheal Lwokorach ngómusumba wessaza lye Nebbi omugya.

Essaza lino libadde wansi wobulabirizi bwa Monsignor Emmanuel Odaga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *