Amawulire

Museveni atendereza omugenzi Ignatius Musaazi

Museveni atendereza omugenzi Ignatius Musaazi

Ivan Ssenabulya

October 5th, 2019

No comments

Bya Damali Mukhaye, Omukulembeze w’eggwanga yoweri Museveni atendereza omugenzi Ignatius Musazi n’abakulembeze abalala abagyayo n’agomubuto okununula amawanga ga badugavu okuva mu mikono kya Beeru

Bino yabyogeredde ku kabaga akategekedwa okusonda ensimbi ez’okuzimba essomero lya I.K Musazi Innovation Institute.

Museveni yategeezeza nti abakulembeze abasooka balemererwa okugatta amaanyi okulwanyisa abazungu ne badda mu kwelwanyisa bokka na bokka

Ono agamba nti abantu nga Musaazi tebasobola kwerabirwa olw’okuvaayo ne bateeka elyaanyi ku beeru nga bayita mu bibiina bya balimi okutuusa lwebatondawo ekibiina kye byobufuzzi ekyasooka ki Uganda National Congress.

Museveni agamba nti abakulembeze mu mawanga gobuvanjuba bwa Africa balabila ku Musaazi nabo ne bateeka abeeru kunninga okutuusa lwe bafuna obwetwaze

Mu kudukirira omulimo gw’okuzimba essomero lya musaazi pulezidenti yawadeyo obukadde 100

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *