Amawulire

Museveni nowa Burundi, Évariste Ndayishimiye beyamye okukolera awamu

Museveni nowa Burundi, Évariste Ndayishimiye beyamye okukolera awamu

Ivan Ssenabulya

May 14th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni ne munne owa Burundi, Évariste Ndayishimiye beyamye okunyweza enkolagana wakati wamawanga gombi mu byokwerinda nenkulakulana egasiza awamu abantu.

Ndayishimiye, ali kuno ku bugenyi bwa nnaku 2, yatuuka ku lunnaku Lwokubiri neyetaba mu kulayira kwomukulembeze we’ganga wali e Kololo.

Mu nsisinkano gyebabaddemu mu maka gobwa pulezidenti Entebbe, Museveni yagambye nti enkulakulana yewamu yetagisa nnyo okugeza okukola oluguudo lwa Mutukula-Masaka-Kampala noluguudo lwa Mutukkula-Kyaka-Kayanga okutukira ddala e Ngara.

Kino agambye nti kyakutumbula ebyobusubuzi wakati wamawanga gombi, nabantu bafunemu.

Yye Ndayishimiye agambye nti Burundi ne Uganda balina bingi ebibagatta mu byobusubuzi, gamba mu byobulimi, ebyobugagga ebyomu ttaka, nebiralala ebiyinza okwetaaga okusigamu ensimbi.

Atenderezza Museveni olwobuwagizi bwabaddenga abawa okutebenkeza egwanga lya Burundi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *