Amawulire

Museveni ayogedde ku kiwamba bantu
Bya Ivan Ssenabulya
Omukulembeze we wganga Yoweri K. Museveni ayogedde ku kiwamba bantu ekikudde ejjembe, mu gwanga.
Mu kwogera kwe eri egwanga aolunaku lwe ggulo, Museveni yakiriza nti waliwo okukwatibwa kwabantu, wabula nagumya nti ekiwamba nga bwebakyogerako tekisoboka kuberawo ku mulembe gwa NRM guno.
Yagambye nti abamu ku bazze bakwatibwa 177 baweebwa okweyimirirrwa, atenga 65 bebakyanonyerezebwako ku misango egyenjawulo.
Yalagidde amanya gabantu bano galagibwe, okusobola okugumya abantu nokubajjamu okutya ku bantu abatamanyikiddwako mayitire.
Museveni era yayanukudde abomukago gwa Bulaaya, abatadde abawabudde nti abamu ku bakungu mu gavumenti ya Museveni batekebweko envumbo olwokutyoboola eddembe lyobuntu.
Yagambye nti ebeera ndowooza ya kito nnyo, abazungu okulowooza nti bayayana okugenda e Bulaaya.