Amawulire

Museveni ayimirizza kampeyini e Mukono

Museveni ayimirizza kampeyini e Mukono

Ivan Ssenabulya

December 28th, 2020

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Akutte bendera ya NRM ku bvukulembeze bwe gwanga Yoweri Museveni ayimirirzza kampyini ze mu distulikiti ye Mukono olwaleero gyabadde asubirwa.

Kino agambye nti kikoleddwa, oluvanyuma lwakakiiko kebyokulonda okuyimiriza kampeyini mu disitulikiti ezimu, nga Mukono yeemu ku zzo.

Kati agambye nti agenda kwogerako eri egwanga okuyita ku TV ne Radio eggulo lya leero.

Kati omusasai waffe bwayiseeko mu kibuga e Mukono, abawagizi ba NRM babadde batandise okwejaga nokukuba embuutu nga besunga okwaniriza       Museveni.

Embeera ebadde erabiddwako e Wantoni nemu kibuga Mukono wakati.

Kino kyakoleddwa olwemiwendo gyabalwadde ba ssenyiga omukambwe egigenda gyeyongera mu disitulkiti kampeyini mwezayimiriziddwa.

Disitulikiti awamu 11 zezakoseddwa, ngendala kuliko Mbarara, Kampala, Kabarole, Luwero, Kasese, Masaka, Wakiso, Jinja, Kalungu, Kazo ne Tororo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *