Amawulire

Museveni ayimirizza ekitongole kya DGF

Museveni ayimirizza ekitongole kya DGF

Ivan Ssenabulya

February 3rd, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omukulembeze we gwanga Yoweri Museveni alagidde minisitule yebyensimbi, okuyimiriza ekitongole kya Democratic Governance Facility, mu Uganda okutuusa nga gavumenti emaze okuddamu okwetegereza obukulembez bwakyo.

DGF kyekimu ku bitongole ebisinga okuvujirira emirimu egyenjawulo mu Uganda, mu kubalirira gya bukadde na bukadd bwa pounda 100.

Mu bbaluwa gyawandikidde minisita webyensimbi Matia Kasaija, President Museveni agambye nti yetaaga okumanya lwaki bano baleeta kuno ssente mpitirivu awatali mukono gwa gavumenti oguliwo okulondoola emirimu ddala ejikolebwa.

Museveni anenyezza aba minisitule, obutakirowozaako, nti obutafaayo ku ntambula yemirimu gyabano, nti kiyinza okuvaamu akabaate.

Museveni era agambye nti bano balina engeri gyebagotanyamu emirimu gya gavumenti, nga berimbika mu kutumbula democrasiya, era nawera nti tebajja kukiriza nga Uganda okubeera ebbali ngabawagizi ngabalala bebakola.

Kati atadde ku nninga aba minisitule yebyensimbi, okubaako byebaddamu ku songa zino zagamba nti ziribika zetobekamu enguzi.

Kati alagidde kalisoliiso wa gavumenti, ssabapoliisi we gwanga, ssabawaabi wa gavumenti okubakana nokunonyereza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *