Amawulire

Museveni awagidde Nakalema ku kuzinda banka enkulu

Museveni awagidde Nakalema ku kuzinda banka enkulu

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Akulira akakiiko akalwanyisa enguzi okuva mu maka g’omukulembeze w’egwanga akakulemberwa Lt. Col. Edith Nakalema avuddeyo kafulumizza ekiwandiiko ku kunonyereza bwebaliko ku bakulu mu Bbanka ye gwanga enkulu ku bigambibwa nti benyigira mu mivuyo, egtyokukuba ssente, mwebakubisiza ezaabwe obuwumbi 90.

Ssentebbe waako agambye nti akakiiko kano nga kakolera wansi wamateeka, kakwataganye ne poliisi mu kunonyereza kuno.

Okunoonyereza kuno agambye nti kukoleddwa oluvanyuma lwa Gavana wa Bbanka enkulu okubabagulizaako ku vvulugu ono.

Vvulugu ono kigambibwa nti yetabwamu n’abakulu mu kitongole ekiwooza ky’omusolo nekyentambula ye nnyonyi ekya Civil Aviation Authority.

Omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo ategezezza nga n’omukulembezze we gwanga bweyategezedwako ku nsonga zino era nawagira, nti okunonyereza kukolebwe.

Kati Opondo agambye nti emirimu gya Bbanka enkulu gyakusigala nga gitambula kinawadda.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *