Amawulire

Museveni avumiridde ekya bannaYuganda okugenda ku kyeyo

Museveni avumiridde ekya bannaYuganda okugenda ku kyeyo

Ivan Ssenabulya

May 2nd, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni alaze obutali bumativu kungeri bann-Uganda gyebafulumamu egwanga okunoonya emirimu emitala wamayanja.

Yasinsidde ku mikolo gyolunnaku lwabakozi egyakwatiddwa mu mak gobwa pulezidenti Entebbe, nategeeza nti ye balwaba Uganda rimu emikisa mingi era egimala buli muntu okwekolera.

Anokoddeyo emirimu mu kisaawe kyebyobulimi, ebya technologiya, ebyamakolero obuwereza obwabulijjo obusolo abavubuka mwebayinza okuyita okwekulakulanya.

Agambye nti bann-Uganda balina okukomya okuzunga mu mawang amalala.

Omukulembeze we’gwanga azeemu nawolereza entekateeka gyaliko okuzimba enguudo ku mulirwano mu gwanga lya DR-Congo.

Agambye nti abamu bamutegeera bubi nayenga kino kijja kuyamba okwongera ku nyingiza ya gacumenti alyoke akole nengudo ezikyali obubi wano.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *