Amawulire

Museveni avudemu omwasi ku bya America ne Kayihura

Museveni avudemu omwasi ku bya America ne Kayihura

Ivan Ssenabulya

September 22nd, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni avudemu omwasi kubya America okukugira eyali senkagale wa poliisi Kale Kayihura, okugenda munsi yaabwe.

Museveni agamba nti akakyamukiriro ab’oludda oluvuganya keboleseza kunsonga eno kaabadde teketagisa

Bino bibadde mu bbaluwa ye gyawandikidde bannauganda bayita Bazzukulube

Museveni yenyamidde okulaba nti ab’oludda oluvuganya baasanyuse nyo nga munnauganda munaabwe asongedwamu olunwe nagamba nti kino kiraga nti tebategeera bigenda ku semazinga wa Africa ne Uganda okutwaliza awamu.

Ayongedeko nti okugenda mu America oba eggwanga eddala lyonna nga si Africa sikyamaanyi nyo nti bwebakugaana okugendayo oyinza okukiyita ekibonerezo.

Mungeri yemu Museveni agambye nti buli kisobyo kyakoze wakukidiramu wano kuba uganda tegenda kusindika muntu yenna munnauganda mu kkooti y’ensi yonna.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *