Amawulire

Museveni atendereza gavumenti ye olw’enkulakulana

Museveni atendereza gavumenti ye olw’enkulakulana

Ivan Ssenabulya

February 6th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Omukulembeze weggwanga YK Museveni atendereza gavumenti ye eya NRM okukyusa Uganda okuva mu Uganda eyalemwa

Bwabadde ayogerera mu mikolo gya maggye egya Tarehe sita egy’omulundi ogwe 40, Museveni era nga ye ssabaddumizi w’eggye lye gwanga erya UPDF, agambye nti gavt ye efubye okulaba nti Uganda ekulakulanira ku misinde egyawaggulu.

Ono anyonyodde nti ngo’gyeko eky’okukulakulanya eggwanga, eggye lya UPDF likoze nyo okutebenkeza eggwanga okuva eri abalabe

Mungeri yemu Museveni ategeezeza nga mu kisanja kye kino gavt bwegenda okuteeka essira ku kyo kwongera okukulakulanya eggwanga n’okutumbula embeera za bantu.