Amawulire

Museveni asabye kooti egobe omusango gwa Bobi

Museveni asabye kooti egobe omusango gwa Bobi

Ivan Ssenabulya

February 7th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Omuwanguzi wokulonda kwa bonna okwaliwo nga 14 January 2021, owa NRM Yoweri Kaguta Museveni asabye kooti ensukulumu okugoba omusango gwa Robert Kyangulanyi Sentamu awakanya obuwanguzi bwe, ate bamulagire asasule ensimbi ezinaaba zisasanyiziddwa.

Okuyita mu bannamateeka be aba Kiryowa and Karugire advocates Museveni agamba nti yalondebwa mu mateeka eranga okuloda kwali kwamazima na bwenkanya okusinziira ku ssemateeka wa Uganda.

Museveni era agamba nti okwemulugunya kwa Kyangulanyi kwatuuka mu kooti kikerezi, ngennaku 15 ezirambikiddwa mu mateeka ziyiseewo, okuva nga 16 January 2021 omuwanguzi lweyalangirirwa.

Museveni, agamba nti byebogerako ebyabakuuma ddembe okulumbagananaga abavuganya nokuyimiriza enkungaana zaabwe, okukuba bann-Uganda nebiralala byavanga ku Kyangulanyi yennyini eyajemera amateeka nebiragiro ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Museveni era yegaanye nebyogerwa nti amateeka ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe COVID-19, tebagakwasisanga kyenkanyi.

Kati okusinziira ku ssabalamuzi we gwanga Alfonse Owiny Dollo abalamuzi 9 aba kooti ensukulumu, bebagenda okuwuliriza omusango gwa Kyangulanyi oguwakanya okulondebwa kwa Museveni.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *