Amawulire

Museveni asabye abakulembeze okwewala enguzi
Bya Rita Kemigisa, Omukulembezze wa kuno Yoweri Museveni asabye abakulembezze mu ggwanga lino n’olukalul lwa Africa okwewalira ddala enguzi bwebabanga bagala okuwangala.
Bino abogeredde ku mukolo ogw’okusabira eggwanga okwabuli mwaka okukwatidwa mu Kampala, Museveni ategeezezza ng’abakulembezze bangi bwebeefiiriza emikisa gyabwe mu bulamu olw’obutaba besigwa kimala eri abantu be bakulembera.
Ono asomozza n’abavubuka ab’egwanyizza obulkulembezze okusigala nga bakakakmu.
Ayongeddeko nti mu biseera abakulembeze ba Africa we batukira ku bwetwaze bali bakakamu ebitagambika ate nga b’amazima wabula ebbanga bweyitawo ate ne bakyuka.