Amawulire
Museveni alambudde ku muwanika wa NRM
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni olwalero akyaliddeko Omuwanika w’ekibiina kya NRM Rose Namayanja akyagenda mu maaso n’okujaanjabibwa mu ddwaliro e Nakasero.
Namayanja yagwa ku kabenje ku lunaku lw’okubiri e Kigogwa ku luguudo oluva e Kampala okudda e Bombo era naddusibwa mu ddwaliro e Nakesro ng’embeera mbi nyo.
Wabula abasawo okuva e Nakasero bategezeza nga Namayanja watandise okukuba ku mattu era nga akadde kona wakusibulwa.