Amawulire

Museveni alagidde Buganda esasulwe

Museveni alagidde Buganda esasulwe

Ivan Ssenabulya

February 5th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni alagidde minister webyensimbi, asasule mbagirawo obwakabaka bwa Buganda obuwumbi 3, ekitundu ku bbanja lyebabanja gavumenti ery’obuwumbi 6 ezobupangisa.

Bino bibadde mu nsisikaano y’omukulembeze we gwanga, ne Ssabasakka Kabaka onald Muwenda Mutebi 11 ebadde mu Lubiri lwe Banda.

Mungeri yeemu alagidde minisita webyensimbi asse mu mbalirira y’omwaka ogujja 2019/2020 obuwumbi 23 nekitundu 5 nobuwumbi 23 nekitundu mu mbalirira ya 2020/2021, Buganda zebanja mu kizimbe kya Muteesa House mu kibuga London, mu gwanga lya Bungereza.

Presidenti Museveni alagidde minisita webyettaka okyusa ebyapa bya Buganda byonna ebyamala okukakasibwa, bidde mannya g’obwakabaka.

Ensisinkano eno yetabidwamu Ssabawolerezza wa gavumenti eya wakati, William Byaruhanga, minister omubeezi avunayizbw ku bamusiga nsimbi, EvelynAniite.

Ate kulwa Buganda Katikkiro Charles Peter Mayiga, Ssabaworereza w’obwakaba Owek. David Mpanga nabalala, bebabaddewo.