Amawulire

Museveni akungubagidde munnamawulire Kunobwa

Museveni akungubagidde munnamawulire Kunobwa

Ivan Ssenabulya

November 8th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Asinzidde ku kanisa ya St. Phillip and Andrew’s Cathedral e Mukono mu kusabira eyali munamaywlire ku Radio Uganda James Kunobwa Kezaala, era eyaliko omukubiriza wolukiiko lwa district ye Mukono.

Ono yafudde kirwadde ekyokusanyalala ku lunnaku lwe Sunday, wabula omulabirizi agambye nti abantu basaanye okukola ebintu ebirungi ebinabajjukirwako so ssi ebikyamu.

Kati mu bubaka omukulembeze we gwanga bwatisse minisita owa’mazzi omubaka wa Mukono North Ronald Kibuule, asabye bana-Uganda okukolanga obulungi okujjukirwa.

Agambye nti omugenzi Kunobwa abadde musajja njasabiggu, ayagala egwanga lye nokuliwereeza.

Yye eyali ssentebe wa ye Mukono Francis Mukoome Lukooya Mukoome, agambye nti omugenzi awatali kubusa buusa yateeka ettofaali ku district.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *