Amawulire

Museveni akungubagidde Mugabe

Museveni akungubagidde Mugabe

Ivan Ssenabulya

September 7th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye,Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni akungubagidde omugenzi Robert Mugabe eyali omukulembeze w’eggwanga lya Zimbabwe.

Mugabe yasiza omukka ogw’enkomerero olunaku lwegulo nga aweza egy’obukulu 95 mu ggwanga lya Singapore gyabadde yatwalibwa okufuna obujanjabi mu mwezi gwokuna.

Nga ayita ku mukutu gwe ogwa twitter Museveni ayogedde ku mugenzi Robert Mugabe ngomununuzi wa frica era omusajja abadde ayagala enyo semazinga wa Africa.

Ayongedde nategeeza ngensi bwegenda okusubwa Mugabe olwokulwaana okulwanyisa obusosoze mu langi mu ggwanga lya Zimbabwe.

Mugabe wafiiridde ngayamamulwa omukono mu kibya mu mwaka gwa 2017 oluvanyuma lwokumala emyaka 37 nga ye pulezidenti wa Zimbabwe.

Mugabe wakujukirwa nyo mu kufaayo okulaba nti abaddugavu munsi ye bafuna ebyobulamu ebirungi ne byenjigiriza.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *