Amawulire

Museveni akkiriza aba Gulu University okukola eddagala lya Covilyce

Museveni akkiriza aba Gulu University okukola eddagala lya Covilyce

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2021

No comments

Bya Tobbias Owiny

Omukulembeze weggwanga Museveni akkiriza ettendekero lya Gulu University okugenda mu maaso nga bakola eddagala lya Covilyce-1, okuva mu miti gyawano erigambibwa okuba nti liwonya ekirwadde kya covid-19 mu ssaawa 72.

Kino kidiridde ensisinkano bannasayansi 4 okuva mu Gulu University gye babaddemu nomukulembeze weggwanga mu makage nga bamunyonyola webatuuse ne ddagala lino

Omu kubabadde mu nsisinkano eno atayagadde ku mwatukkiriza maanya abuulidde omusasi wolupapula lwa Daily monitor nti oluvanyuma lwa bannasayansi bano okunyonyola pulezidenti ku bikwata ku ddagala lya Covilyce yasanyuse

Gye byagweredde nga akkiriza ettendekero lino ligende mu maaso nokukola eddagala lino era nasaba minisitule eyebyobulamu okutandika okwetegereza eddwaliro lya gavt e Gulu ne lya mbarara referral hospital bafune abalwadde bebagezeserezako eddagala lino okuzuula butya bwelikola

Era yasabye minisitule ye byensimbi ewe aba Gulu obuwumbi 3.7 zibayambeko mu kukola eddagala lino lyalinamu essuubi nti lya kutaasa bannauganda bangi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *