Amawulire

Museveni agobye okusaba kwa basiraamu

Museveni agobye okusaba kwa basiraamu

Ivan Ssenabulya

April 17th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Omukulembeze weggwanga asomozeza abayisiramu mu ggwanga obuteyambisa mwezi omutukuvu ogwa Ramathan okuteeka mu bulabe abagoberezi babwe mu kufuna ekirwadde kya covid 19.

Abasiraamu baali basaba gavt okwongezaayo kafyu kibasobozese oobutamenya kitagiro kya kafyu nga bava okusaala taraweah mu mwezi guno ogwokusiiba.

Wabula mu kwogerako eri eggwanga akawungeezi akayise Museveni yategeeza nti tasobola kukyusa budde bwa kafyu mu kadde kano kuba kiba kya bulabe.

Abasiraamu yabawadde amagezi basabire mu maka gaabwe kuba katonda buli wamu waali.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *