Amawulire

Museveni agenda kuggulawo olusirika

Museveni agenda kuggulawo olusirika

Ivan Ssenabulya

April 15th, 2021

No comments

Bya Musasai waffe

Omukulembeze we’gwanga, nga ye seentebbe wekibiina kya NRM, Yoweri K. Museveni olwaleero asubirwa okuggulawo olusirika lwababaka bekibiina, olutudde ku bbanguliro lyebyobufuzi mu disitulikiti ye Kyankwanzi.

Okusinziira ku akulira ebyamwulire ku gwandisizo lyekibiina, Emmanuel Dombo ababaaka ng’okusinga bebappya abakalondebwa bagenda nabo ketaba mu lukiiko lwa CEC, olwa Central Executive Committee.

Abalala abegnda okulwetabamu bebakiise mu palamenti yobuvanjuba bwa Africa, eya EALA.

Dombo agambye nti mu bubaka obwakogerwa, Ssabawandiisi wekibiina Justine Kasule Lumumba yajjukiza ababaka ku nono ze’kibiina.

Olusirika luno lwatandika nga 7 April wabula lwakuggalwawo nga 29 ku nkomerereo y’omwezi guno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *