Amawulire

Museveni agamba nti balina webatandikira mu kufuna ababadde bagala okutta Katumba

Museveni agamba nti balina webatandikira mu kufuna ababadde bagala okutta Katumba

Ivan Ssenabulya

June 1st, 2021

No comments

Bya Rita Kemigisa, Prossy Kisakye ne Benjamin Jumbe,

Omukulembeze weggwanga Yoweri Museveni ategezeza nga bwebafunye amawulire aganabatuusa ku batemu ababadde Bagala okutta Gen Katumba Wamala.

Gen. Katumba asimatuse okuttibwa okuliraana amakage e Bukoto Kisaasi enkya ya leero abatemu abatanategerekeka bwebasumuludde ebyasi ku motokaye muwalawe Brendah Nantogo ne derevawe Haruna Kayondo ne bafiirawo.

Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa ku social media omuwabuziwe owebyamawulire Lindah Nabusayi, Museveni ababadde Bagala okutta Gen Katumba abayise mbizzi era agamba nti ayogedeko ne Gen Katumba kusimu nawulikika nti ajja kuba bulungi kuba abasawo bamukolako bulungi.

Museveni asabye katonda okusuuka Katumba obulungi era ategezeza nti singa omukuumi wa Katumba akubye amasasi butereevu eri abatemu ne bafa natagakuba mu bbanga kati singa abatemu babalina kyokka era agamba nti nokugakuba mu bbanga kitaasiza okutaasa obulamu bwa Katumba kuba bwagakubye mu bbanga badduse.

Mungeri yemu, Ekibiina kye byóbufuzi ekya Democratic Party kisaasidde nyo enyumba ya Gen Katumba Wamala olwókufiirwa omwana waabwe.

Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala, omwogezi wa DP, Okoler Opio, agambye nti wabula mu mbeera bweti kiraga nti bannauganda obuguminkiriza bubawedemu olwokunyigirizibwa kwebayisibwamu abali mu buyinza ekibavirako okukola ebikolwa ebyobutemu nga bino.

Ono gamba nti bannauganda balina obusungu ku buli muntu atambulira mu motoka ya gavt nga balowooza nti bebabatulugunya

Mungeri yemu ssabalabirizi wekanisa ya Uganda Dr Stephen Kazimba naye avumiridde ebikolwa ebyobutemu ebigenda mu maaso mu ggwanga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *