Amawulire

Musale ku z’abakungu

Ali Mivule

September 25th, 2013

No comments

inter-religoius council

Abakulembeze b’amadiini bagala gavumenti esale ku nsimbi z’esasanya  ku bakungu baayo ab’enjawulo ezongeze abasomesa.

Banaddiini bano bagamba ensimbi nyingi zisasanyizibwa ku baminister, abawi bamagezi, ababaka ba palamenti nabalala eziyinza okukendeezebwako abasomesa nabo nebongezebwa nebafuna ku sanyu.

Sentebe w’akakiiko akagatta amadiini ag’enjawulo , Jonah Lwanga agamba nti gavumenti eddemu yekenenye emisaala gy’abakozi baayo efune ensimbi zeyongeza abasomesa

Go amasomero agasinga gasigadde maggale olunaku olwekumi olw’omudiringanwa.

Ku somero lya  Mengo primary school, Old Kampala, Bat Valley ne  Buganda road school, abayizi bamusaba awatali musomesa yenna.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *