Amawulire

Munyagwa waakuwozesebwa

Munyagwa waakuwozesebwa

Ivan Ssenabulya

September 24th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Kooti ewozesa abali benguzi nabakenuzi ekalambidde nti omubaka wa Kawempe South, ssentebbe wakakiiko ka palamenti aka COSASE Mubarak Munyagwa atekeddwa okulabikako ggyeri nga 4 mu Novemba womwaka guno ku misango gyenguzi.

Kigambibwa nti ono yalya ekyoja mumiro bweyali akyali omubaka we Kawempe.

Omulamuzi wa kooti eno Pamela Lamunu kidiridde okugoba okusaba kwa Munyagwa, mwabadde ayagalira omulamuzi obutaganya kumuwozesa, ngagamba nti ssabawaabi wa gavumenti tayinza kumuggulako misango egyo, atenga abaali bamuvunaana baajijjamu enta.

Wabula omulamuzi alagidder nti omusango guno gugende mu maaso era Munyagwa alabikekeo nga 4 Novemba ayanukule ku misango egimuvunanibwa.

Oludda oluwaabi lugamba nti gwali mwaka gwa 2014 mu Decemba ku kampuni ya Haks Investment Limited ku luguudo 6 mu Industrial Area mu Kampala, Munyagwa bweyali emeeya we Kawempe naweebwa ekyoja mumiro ky bukadde 100 okuva ku Francis Kakumba abeeko engeri yateeka omukono mu kulondebwa kwa mutabani we Isaac Muyanja, ku lukiiko lwa KCCA olwebye ttaka.