Amawulire

Munnauganda Kiplimo awangudde omuddaali ogwa Zaabu mu misinde

Munnauganda Kiplimo awangudde omuddaali ogwa Zaabu mu misinde

Ivan Ssenabulya

October 17th, 2020

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Omuddusi wa Ugandas  Jacob Kiplimo atemera mu gy’obukulu 19 awangudde omuddaali ogwa Zaabu mu empaka eza World Half Marathon Championships eziyindidde mu kibuga  Gdynia e Poland

Kiplimo amalidde mu ddakika 58:49 neyekolera likodi munsi yonna.

Kiplimo oluvanyuma lw’okuwangula ategeezeza nga kyatuuseeko bwakikoleredde enyo era abadde akigwana.

Ate ye Cheptegei eyakawangula empaka ezokutolontoka ezebyalo eza mita 10,000m mu mwezi guno ku mulundi guno akutte kyakuna mu mpaka zino addukidde eddakika 59:21, munnakenya Kibiwott Kandie akutte kyakubiri, munnansi wa Ethiopia Amedework Walelegn nakwata eky’okusatu.

BannaUganda abalala okuli  Victor Kiplagat ne Stephen Kissa  bakutte kya 16th, ne 19th.

Omukulembeze w’eggwanga ne mukyalawe Janet Museveni bayozayozeza Uganda olw’omutindo gw’eyoleseza mu mpaka zino.