Amawulire

Munnansi wa Sudan Sudan attiddwa mu bubbi obubadde e Nansana

Munnansi wa Sudan Sudan attiddwa mu bubbi obubadde e Nansana

Ivan Ssenabulya

April 25th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi mu Kampala North, etandise okunonyereza ku bubbi obwakoleddwa ku Abraham Wani Yoane munnani wa South Sudan.

Okusinziira ku Luke Owoyesigyire amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirwano Yoane bamukakanyeko nebamutematema nga bamuyingirrdde mu kazigo mwabadde asula e Nsumbi Kyabando, mu bitundu bye Nansana.

Wabula okusinziira ku balirwana, abakoze obulumbganyi buno balabika babadde banne, kubanga bawuliddwa nga bogera mu-Lusudani era oluvanyuma bakuliise nebintu byomu nnyumba ebiwerako.

Omusajja ono bmudusizza mu ddwaliro lya Orthodox Namungoona Hospital gyebamujje okumwongerayo ku ddwaliro lya IHK Namuwongo, gyafiridde.

Kati poliisi etandise okuyigga abakoze obutemu buno, okuvunanwa emisango gyobutemu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *