Amawulire

Munnansi wa South Sudan abuuse ku kizimbe neyetta

Munnansi wa South Sudan abuuse ku kizimbe neyetta

Ivan Ssenabulya

July 14th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi ye Nansana batandise okunonyereza ku nfa yomusajja owemyaka 20 munansi wa South Sudan agambibwa nti yesse.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano Luke Owoyesigyire agambye nti bino bibadde ku Alera apartments, gyabadde abeera.

Omugenzi ye Kueth Nyameisha ngabadde abeera ne maama we wabula yabuze nebamunoonya, era baloopye omusango gwokubula kwomuntu ku poliisi ye Nabweru.

Wabula yakomyewo awaka amakya ga leero, nalinnya ku kizmbe okutuuka ku mulwaliro gwokuna, gyawanuse neyesuula ku ttaka.

Omulambo gutwaliddwa mu gwanika lyeddwaliro ekkulu Mulago okwekebejjebwa, nga nokunonyereza kutandise.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *