Amawulire

Munnamawulire Kagolo attiddwa

Munnamawulire Kagolo attiddwa

Ivan Ssenabulya

April 30th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Poliisi etandise okunonyereza ku butemu obukoleddwa ku munnamawulire wa UBC, Robert Kagolo, ngakubiddwa amasasi agamusse mu kiro ekikesezza olwaleero.

Obiutemu buno bubadde ku kyalo Bugembejembe mu disitulikiti ye Wakiso.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirwano Luke Owoyesigyire agambye nti omugenzi abadde ava mu kyalo okuziika muganda we.

Kigambibwa nti yakengedde nti wabadewo abamulondoola, nasalwo ayingire ennyumba ya muganda we omugenzi, yebadde ekumibwa aba LDU.

Mu kugezaako okwekweka yatomedde wankaaki wenyumba ne mmotoka ye mweyabadde atambulira.

Owoyesigyire agambye nti omugenzi Kagolo yafunye obutakanya naba LDU, wabula bakyanonyereza okuzuula kwebavudde.

Kagolo bamuddusizza mu ddwaliro lya St Joseph e Wakiso where gyeyasirizza omukka ogwenkomerero.

Owoyesigyire agambye nti bakutte Mamuli Rashid eyakubye omugenzi masasi ne banne bwebabadde.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *