Amawulire

Munnamawulire awawabide bba womubaka Katushabe

Munnamawulire awawabide bba womubaka Katushabe

Ivan Ssenabulya

September 17th, 2019

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Munnamawulire wa Vision Group mu district ye Bukomansimbi  Phiona Nanyomo agguddewo omusango ku H.B Matovu, omwami w’omubaka wa Bukomansimbi North Ruth Katushabe olw’okumutyoboola mu lujjudde.

Munnamauwlire agamba nti omusajja ono yalagira abasirikale namagye, okumugoba ku kisaawe sabiiti ewedde bweyali nga agenze okusaka amawulire ku lunaku lw’abavubuka ab’ekibiina kya NRM.

Phiona Nnanyomo okujja ku mukolo guno yaleetebwa munna kibiina Kya JEEMA, ssentebe wa district ye Bukomansimbi Muhammad Kateregga nga baali basoose ku mukolo gw’okuggulawo nayikondo z’amazzi era yasalawo amuvuge amuleete awaali wategekeddwa omukolo gwa NRM.

Agamba nti yamuswaza bweyamusindikriza ngekyoku ttale, atenga yali akola mulimu gwe

Addumira poliisi ye Bukomansimbi Sowedi Manisur agambye nti Matovu agguddwako omusango gw’okutiisatiisa omuntu nokugaana munnamawulire okukola emirimu gye.

Wabula Matovu ayogerwako, agaanye okubaako kyayogera ku nsonga eno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *