Amawulire

Munnamawulire Ashraf Kasirye ajjeeyo omusango

Munnamawulire Ashraf Kasirye ajjeeyo omusango

Ivan Ssenabulya

March 26th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Munnamwulire wa Ghetto TV Ashraf Kasirye, ajjeeyo omusango gweyali yawawabira gavumenti mwabadde ayagalira okumuliyirirra, olwokumutusaako obuvune nokwonoona ebikozesebwa bye.

Omulamuzi wa kooti enkulu Esta Nambayo akitegeddeko okuyita mu munnamateeka wa Kasirye, John Mpambale nti eyali yawaaba alai mu mbeera mbi nnyo etabasobozesa kugenda mu maaso nomusango.

Kati omuwaabi wa gavumenti Allan Mukama naye takiwakanyizza, omulamuzi kwekusalawo okubawa olukusa begujjeyo.

Omusango gwali gwawaabwa nga 3 mu Decemba 2020 nga Kasirye, yali awakanya obukambwe bwa poliisi bwebamukakanako nebamukuba nebonoona ne camera  bwebalai mu kampeyini, nga Robert Kyagulanyi owa NUP anoonya akalulu.

Bino byaliwo nga 18 mu Novemba 2020 mu disitulikiti ye Luuka, poliisi bweyali ekwata Kyagulanyi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *