Amawulire

Munnamateka Opio asindikibwa mu kkomera

Munnamateka Opio asindikibwa mu kkomera

Ivan Ssenabulya

December 24th, 2020

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Omulwanirizi weddembe, Nicholas Opiyo, asindikibwa mu kabula muliro oluvanyuma lwokugulwako emisango egyokutambuza ensimbi mu bumenyi bwamateeka nokulemererwa okuwaayo embalirira kunsasanya yensimbi ze eri ekitongole omwegatira ebibiina byobwannakyewa.

Bwalabiseeko mu kkooti e Nakawa Opio asindikibwa mu kkomera yebakeyo okutuusa nga 28th December

Ono avunanibwa ne banne abalala 4 okuli Herbert Dakasi, Esomu Obure, Anthony Odur and nómulwanirizi we ddembe, Hamid Tenywa wabula nga bbo bayimbuddwa ku kakalu ka poliisi.

Olunaku lweggulo omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, yategeezeza nga bwebafungiza mu kunonyereza ku misango gyokutambuza ensimbi mu bumenyi bwamateeka egyaguddwa ku Opio

Wabula bbo bannakyewa nakati bavumirira ebitongole ebikuuma ddembe kungeri gye bakwatamu bannamateeka bano be balumiriza nti balwanirizi ba ddembe

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *