Amawulire

Munnamateeka Nicholas Opio bamuwadde okweyimirirwa

Munnamateeka Nicholas Opio bamuwadde okweyimirirwa

Ivan Ssenabulya

December 30th, 2020

No comments

Bya Ruth Anderah

Munnamateeka omulwanirizi we ddembe lyobuntu, ssenkulu wekitongole kya Chapter Four Uganda Nicholas Opiyo awereddwa okweyimirirwa.

Omulamuzi wa kooti enkulu ewozesa ablyake nabakenuzi, Jane Kajuga Okuo yamuwadde okweyimirirwa kwa bukadde 25 mu mpeke nabemweyimirirdde obukadde 100 ezitabadde mu buliwo.

Omulamuzi Opiyo atekeyo passporta ye mu kooti ne laptop, atenga era atekeddwa okweyanjula eri omuwandiisi wa kooti buli luvanyuma lwa wiiki 2.

Opiyo ssekukulu yajimaliddeko mu kkomera, e Kitarya nga nolwaleero alabikidde mu lutimbe mu kuwulira okusaba kwe okwokweyimirirwa.

Abantu 4 bebamweyimirirdde okubadde bannamteeka banne nga Francis Gimara, eyali pulezidenti wa Uganda Law Society.

Opiyo avunanibwa emisango gya bufere, bwokwoza mu ssente nga kigambibwa nga 8 mu Okitobba yafuna ssente emitwalo gya $ 34 nga kekawumbi 1 nobukadde 200 okuyitra mu kitongole kye atenga yali akimanyi nti ssent zigenda kumenya mateeka.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *