Amawulire

Mundeke nzijajanjabe mukyala wange- Mbabazi

Mundeke nzijajanjabe mukyala wange- Mbabazi

Ali Mivule

October 23rd, 2015

No comments

File Photo: Mbabazi nga ne mukyala we

File Photo: Mbabazi nga ne mukyala we

Eyali Ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi agamba nti tasobola kwetaba mu ttabamiruka wa kibiina kya NRM.

Ab’ekibiina kya NRM baayise Mbabazi ne mukyala we okwetaba mu ttabamiruka w’ekibiina atandika ssabbiiti ejja.

Mbabazi agambye nti mu kifo ky’okugenda e Namboole , wakusigala ng’alabirira mukyala we ali ku kitanda mu Bungereza.

Ono agambye nti mu kadde kano atunuulidde lunaku lw’anakakasibwa akakiiko akalondesa era nga kati yayimiriza mu kampeyini ze okusobola okujjanjaba mukyala we.

Wabula Mbabazi asabye abawagizi b’ekisinde kya Go Forward bonna okusigala nga bakkakkamu nga bwebalindirira ennaku z’omwezi nga 3 omwezi ogujja lw’anakakasibwa.