Amawulire

Mulambe ensalo ku ttaka lyammwe- Mulamuzi

Mulambe ensalo ku ttaka lyammwe- Mulamuzi

Ali Mivule

October 22nd, 2015

No comments

File Photo: Ekibangirize kye Ttaka

File Photo: Ekibangirize kye Ttaka

Omulamuzi wa kkooti ejulirwaamu Remmy Kasule asabye bannamateeka okukubiriza abantu okulamba ensalo zaabwe emisango gy’ettaka bwegiba nga gyakukengeera.

Ng’ayogerako eri bannamateeka abayamba abantu ku bwereere, omulamuzi Kasule agambye nti kino kiyinza okukolebwa ng’abantu basimba ebirime ku nsalo oba emiti omuli empaanyi okwewala entalo.

Omulamuzi agambye nt emisango gyebatudde nagyo egisinga gya ttaka nga ne mu bitundu ebisinga abantu betta lwa ttaka ate nga ssinga ensalo ziba zirambiddwa, tewaba buzibu

Kino era omulamuzi Kasule mukakafu nti kyakukendeeza ku kya bagagga abezza ettaka lya banaabwe

 

Ate ebyo ng’obitadde ku mabbali

Ekitongole ekiteekerateekera eggwanga kisabye gavumenti okukozesa ennyo abalimisa ku byaalo okusobola okutumbula ebyobulimu nga bwegwaali edda.

Ssentebe w’ekitongole kino Dr. Kisamba Mugerwa agambye nti abalimisa bano bayamba nnyo edda mu kusomesa abantu okulima era y’ensonga lwaki emmere teyabulanga.

Dr Kisamba ayagala buli kitundu era kinyikirire emmere gyekirima okwewala ebbula ly’emmere.