Amawulire

Mukkirize ebyava mu kulonda-UHRC

Mukkirize ebyava mu kulonda-UHRC

Ivan Ssenabulya

January 19th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Akakiiko akalwanirira eddembe lyóbuntu aka Uganda Human rights Commission kawadde abavuganya mu kalulu akaggwa ne bannauganda bonna okukkiriza ebyava mu kulonda obulamu bweyongereyo.

Bwabadde afulumya alipoota ekwata kukulonda okwakagwa akolanga ssentebe wa kakiiko kano Dr Charles Amooti Katebalirwe, agambye nti yadde nga okulonda kwalimu ebirumira naye okutwaliza awamu kwali kwamirembe.

Anokodeyo obuuma bukali magezi okugaana okukola, ebikozesebwa mu kulonda okutuuka ekikerezi ne birala.

Katebalirwe wabula awadde amagezi bonna abawulira nti babbibwa mu kalulu okugenda mu kkooti mu kifo kyokukola obujagalalo.

Ku lunaku olw’omukaaga akakiiko k’eby’okulonda kalangirira Yoweri Museveni ngómuwanguzi ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga.