Amawulire

Mukaaga beebagala obwa loodimeeya

Ali Mivule

November 18th, 2015

No comments

Abesimbyewo ku bwa loodi meeya 2 bokka bebakakakasa okuzzayo empapula z’okusunsulibwa ku bwa loodi meeya.

 

Loodi meeya Erias Lukwago wakusunsulibwa olunaku lwenkya ku ssaawa munaana ezemisana sso nga ne Isa Kikungwe naye walunaku lwankya.

 

Akulira ebyokulonda mu disitulikiti ye Kampala  Charles Ntege agamba abantu 6 bebagyayo empapula ku kifo kino okuli Eugene Nkulanaba, Mohammed Kyanzi, Rwamiti Apuuli ne  Daniel Kazibwe amanyiddwa enyo nga Ragadee.

Ntege asabye bonna abesimbyewo okusaba olunaku lwokusunsulibwa mu budde okwewala obukubagano n’okubanguyiza emirimu gyabwe.