Amawulire

Muggule wo aamasomero- Gavumenti eragidde abasomesa

Ali Mivule

September 24th, 2013

No comments

 

teachers stick their guns

Minister akola ku byenjigiriza Jessica Alupo alagidde amasomero gonna gaggulweewo yadde abasomesa bakyagenda maaso n’akeedimo kaabwe.

Alupo agamba nti newankubadde abasomesa bano basaba okwongezebwa omusaala , naye ministitule yamaliriza dda okukola embalirira ng’essira erissa ku byanguudo na buzimbi.

Minister okwogera bino abadde sisisnkanyeemu abagenda okulambula amasomero , agagenda okutuula ebibuuzo bya pulayimale  eb’yakamalirizo ebitandika mu mwezi gwa Musenene.

Mu nsisinkano yeemus sabawandiisi w’ekitongole ky’eebigezo mu ggwanga Mathew Bukenya ,era asabye abayizi basabe nyo akeedimo kaggwe basobole okudda mu mu bibiina.

Abayizi abasoba mu 58,000 bebasubirwa okutuula ebibuuzo byomwaka guno.

Bino webijidde ng’abasomesa balangiridde nga bwebagenda okukungubaga nga 5 october, nga luno lwe lunaku lw’abasomesa mu nsi yonna.

Sabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasomesa James Tweheyo, agamba nti ku lunaku luno, bakulaga okunyolwa olwa govt okubayisaamu amaaso .

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *