Amawulire

Mu Kenya kulonda

Ali Mivule

March 4th, 2013

No comments

Kenyans head to polls

Okulonda mu ggwnaga lya Kenya kugenda mu maaso ng’abeesimbyeewo babiri bamaze okusuula akalulu.

Kuno bano kwekuli Ssabaminista Raila Odinga okuva mu mukago gwa CORD ng’ono alondedde ku ssomero lya Kibera Primary school.

Ng’ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okusuula akalulu, Odinga agambye nti musanyufu olw’abantu abangi abajjumbidde okulonda okwetoolola eggwnaga lyonna era ng’olunaku luno lukulu nnyo eri bannakenya.

N’omukyala mu lwokaano luno Martha Karua naye amaze okulonda ng’ono yye elondedde ku Kyaalo Gichugu mu masekkati ga Kenya.

Uhuru Kenyata asuubirwa naye okulonda akadde konna ng’ono agenda kulondera ku kyaalo ekimanyiddwa nga Gitundu.

Wabula yye bwebali mu nsawo emu, William Ruto amaze okulonda ng’ategeezezza nga bwebajja okussa ekitiibwa mu kyonna ekinavaayo.

Yye omukulembeze ali mu ntebe, Mwai Kibaki asuubirwa okulonda ku ssawa nnya ng’no wakulondera ku kyaalo Nyeri.

N’eyali omukulembeze Daniel Arap Moi naye wakulonda akadde konna nga wakulondera ku ttendekero elinayiddw anga Kabarak mu kibuga Nakuru

Ebisingawo mu mawulire gaffe ku 90.4 Dembe FM

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *