Amawulire

Monitor ekubye Tooki mu kuyimiriza kampeyini

Monitor ekubye Tooki mu kuyimiriza kampeyini

Ivan Ssenabulya

December 29th, 2020

No comments

Bya Monitor

Ekitundutundu ku disitulikiti kampeyini gyezayimiriziddw, kizuuse nga buli emu yakafuna abalwadde abali mu 400 mu bbanga eryemyezi 10 ejiyise.

Wabula distulikiti endala kampeyini gyezikyagenda mu maaso, ezimu zirina abalwadde abali mu 500 nokudda waggulu okua ekirwadde kya ssenyiga omukambwe lwekyakaksibwa mu gwanga mu mwezi gwokusattu.

Ezimu ku zinokoddwayo Kazo mu Bugwanjuba bwe gwanga, Buvuma ne Kayunga mu masekati ge gwanga balina abalwadde omugatte abantu 100.

Okwekennneya kuno kujidde mu lupapula lwa daily monitor olwaleero nga distulikiti nga Gulu ne Amuru mu mambuka ga Uganda balina abalwadde emu 807 endala 589 wabulanga eno kampeyini tezyimiriziddwa.

Kino kireseewo ebibuuzo nti ekigendererwa kyokuyimiriza kampeyini mu distulikiti ezamaneyeddwa kyabadde ki?

Wabula bwebabuziddwa abogezi, owa ministule yebyobulamu Emmanuel Aineybona ne Paul Bukenya owakakiiko kebyokulonda, batunudde kiwekete bwebalemereddwa okwanukula nensonga eze ssimba.

Kati ebisingawo ku ggulire lino, bisange mu Daily Monitor, wolwaleero.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *