Amawulire

Ministry Ye’byobulamu Ewakanyizza Eby’Ebola

Ivan Ssenabulya

August 11th, 2017

No comments

LUWERO

Bya Sam Ssebuliba

Ministry yebyobulamu  evudeyo newakanya ebigambibwa nti waliwo omuntu omulwadde wa Ebola eyazulibwa mu kitundu kye Luweero gy’ebuvudeko.

Kinajukirwa nti ngennaku zomwezi 7th guno waliwo  omukyala eyafa e Luweero wabula ngobubonero bwonna bulaga nti yaffa kirwadde kino kya Ebola ekyaletera abantu okwerarikira.

Ayogerera ministry Vivian Sserwanja agambye nti  okunonyereza okwavudde mu Uganda Virus Research Institute, ekkebejjezo lya gavumenti kulaga nti omusaayi gwomugnzi tegwabademu kirwadde kyonna ekikwatagana nebirwadde nga Ebola, Marburg,  nebirara

Wabula ono agambye nti waliwo abantu abalala 3 bebatedde mu ddwaliro lya Bishop Asili Hospital e Luweero okusobola okubetegereza

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *