Amawulire

Minisitule yegaanye okuguza Ham eddagala erigema COVID-19

Minisitule yegaanye okuguza Ham eddagala erigema COVID-19

Ivan Ssenabulya

July 19th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Minisitule yebyobulamu ekakasizza okuwa omusubuzi Hamis Kiggundu eddagala erigema ssenyiga omukambwe mungeri yokuwagira entekateeka z’okubunyisa okugema mu gwanga.

Mu kiwandiiko minisitule kyefulumizza, omwogezi waayo Emmanuel Aineybona wabula yegaanye ebibadde byogerwa nti Ham bamuguzizza eddagala nagamba nti eddagala lya gavumenti lyonna lya bwerere.

Okusinziira ku Ainebyona, omusubuzi Kiggundu kyeyakoze yakunze banne bagemebwe atenga tekyekuusa wadde ku ssente obukadde 530 zeyawa gavumenti gyebuvuddeko.

Agambye nti ebifo ebyenjawulo bitereddewawo, wmungeri yokutuuka ku bantu okubagema, eranga ekyakoleddwa yeemu ku ntekateeka eyokwongera eddagala erigema COVID-19 mu disitulikiti ye Wakiso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *