Amawulire

Minisitule ye by’obulimu neetegefu okulwanyisa enzige

Minisitule ye by’obulimu neetegefu okulwanyisa enzige

Ivan Ssenabulya

January 14th, 2020

No comments

Bya Benjamin Jumbe, minisitule yebyobulimi ekakasiza nga ginaayo eyebyensimbi bwegenda okubawa ensimbi zibayambeko mu kwerinda enzige ezalumbye banakenya.

Kino kidiridde abaminisitule ye byobulimi okusaba gavumenti ensimbi ziyambe mu kwetangira enzige obutatambala Uganda.

Mu kiseera kino enzige ziri mu kutigomya b’e Somalia, Ethiopia ne ku muliraano mu Kenya.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire minisita avunanyizibwa ku byobulimi Vincent Ssempijja agambye nti ensimbi ze betaaga zakubaweebwa mangu ddala nga zetagisiza.

Ono ategezeeza nga bwebasindise abakugu e Kenya okulaba engeri gyebayinza okwetangiramu embeera eno