Amawulire

Minisitule yé byéttaka yakatukkiriza 85% ku bisuubizo nya NRM

Minisitule yé byéttaka yakatukkiriza 85% ku bisuubizo nya NRM

Ivan Ssenabulya

May 22nd, 2020

No comments

Bya Prossy Kisakye, Minisitule evunanyizibwa ku byettaka, amayumba n’enkulakulana yébibuga yakatukkiriza manifesto ya NRM ne bitundu 85%

Bino byogeddwa minisita w’eby’ettaka, Betty Kamya bwabadde ayanja ebitukiddwako minisituleye mu ssabiiti eno eyokwanjulula bannauganda ebikolebwa gavumenti ya NRM mu kisanja kino

Ono agambye nti basobodde okukola amatabi ga yafeesi ze byettaka 22 okwetoloola eggwanga ne kikendeza ku budde ne ngendo abantu zebaali batindiga okujja e kampala okufuna obuyambi

Kamya era ategeezeza nga bwebasobodde okugabira abantu ebyappa, nokusazaamu ebyo ebyagabibwa mu bukyamu naddala eri abo ababifuna mu ntobazi, ku Nyanja ne ku mabbali gemigga ne kigendererwa ekyokutaasa obutonde

Mungeri yemu minisita asuubiza nga ebitundu   15% ebisigaddeyo bwebagenda okubitukiriza ngekisanja kino tekinagwako