Amawulire

Minisitule yaakunonyereza ku bukambwe bwa COVID-19

Minisitule yaakunonyereza ku bukambwe bwa COVID-19

Ivan Ssenabulya

February 7th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Shamim Nateebwa

Minisitule yebyobulamu egenda kukola okunonyereza mu gwanga lyonna, oba Sero-Survey okumanya obukambwe bwa ssenyiga COVID-19 bwayimiridde mu kiseera kino.

Bino webijidde nga minisitule mu kaseera akayise, yategezezza nga bwewabaddewo okudirirra mu miwendo gyabalwadde egwanga berifuna.

Kati waliwo essuubi nti egwanga lyandiba nga lisobodde okulwana obulungi, okulinnya nab ono ku nfeete.

Wabula omwogezi wa minisitule yebyobulamu Emmanuel Ainebyona alabudde nti waddenga guli gutyo, obulwadde bukyaliwo nga waliwo obwetaavu abantu okuigenda mu maaso nga bagoberera ebiragiro ku kirwadde kino.

Mungeri yeemu, kizuuse nti abalwadde abasing mu Uganda bafa lwa bbula lyamukka ogwa oxygen.

Kino kibikuddwa omukugu mu byobulamu Prof. Fred Ssengooba okuva ku ttendekero lye Makerere.

Agambye nti oxygen mutono mu malwlairo, nomulanga eri gavumenti kino okukigonjoola.