Amawulire
Minisitule eyogedde ku by’okugemesa abaana
Bya Shamimu Nateebwa, Ministry y’eby’obulamu evudeeyo netangazza ku kigendererwa ky’okugemessa abaana mu kugema okwekikuggu okugenda okutandiika olunaku lwenkya.
Uganda erimuntekanteeka zokugema abaana abasoba mu bukadde 18 ekilwadde kya mulangira ne Rubella nga byebitundu 43% ebya baana be gwanga lino ,okugema kutandiika 16th- 20th October.
Minister webyobulamu Dr Jane Acheng, ategezezza nga egwanga bwelyalumbibwa ekilwadde mulangiira ne Rubella mu districts eziwerera ddala 60.
Doctor Acheng mungeri yemu ategezezza nag nekilwadde kya polio bwekikyeriisa enkulu mubitundu ebimu nadala kumulirwano mu Democratic Republic of Congo ne mugwanga South Sudan.
Okugema kuno kwa kuwementa obukadde bwa dollar 18 nag kuwagiidwa Government of Uganda, Global Alliance for Vaccines, ekibiina kyensi yonna ekyebyobualmu ,nekibiina kyamawanga amagtte ekivunanyiziibwa ku baana ne kigendererwa ekyokulinnya kunfeeta ebirwadde nga bino.