Amawulire

Minisitule eyébyóbulamu esabiddwa okuyamba abalwadde ba covid abali e Namboole

Minisitule eyébyóbulamu esabiddwa okuyamba abalwadde ba covid abali e Namboole

Ivan Ssenabulya

June 19th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye

Mayor wa municipality ye Kira Julius Mutebi Nsubuga awanjagidde ekitongole kyebyobulamu okusitukiramu mubwangu okugya e Kira okutaasa abantu abasulibwa kukisaawe eNamboole ngabateberezebwa okubeera nekirwadde kya ssenyiga omukambwe wabula nga tebafibwako kyagambye nti bagenda okulwaaza abantu mu municipality eno.

Mayor Mutebi okutyyka kukino kiddiridde abantu abatanategerekeka okuletebwa kukisaawe enamboole nga babalagirira nga bweriri edwaliro webajanjabira abalwadde ba ssenyiga omukambwe wabula nebatayambibwa nasaba wabeewo ekikolebwa.

Ye omubaka omukyaala akikirira district ye Wakiso mulukiiko olukulu olwegwanga era nga mutuuze mu Bweyogerere division Kira municipality Betty Ethel Naluyima agambye nti ekitongole kyebyobulamu tekifudeyo kubalwadde abali kukisaawe e namboole ngabano batayaya mukibuga bweyogerere kagambye nti abantu bagenda kulwaala.